Zabbuli 66
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
166:1 Zab 100:1Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
266:2 Zab 79:9Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
366:3 a Zab 65:5 b Zab 18:44Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
466:4 a Zab 22:27 b Zab 67:3Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
566:5 Zab 106:22Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
666:6 Kuv 14:22Ennyanja yagifuula olukalu.
Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
kyetuva tujaguza.
766:7 a Zab 145:13 b Zab 11:4 c Zab 140:8Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
amaaso ge agasimba ku mawanga,
ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
866:8 Zab 98:4Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
966:9 Zab 121:3Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
1066:10 Zab 17:3; Is 48:10; Zek 13:9; 1Pe 1:6-7Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
1166:11 Kgb 1:13Watuteeka mu kkomera,
n’otutikka emigugu.
1266:12 a Is 51:23 b Is 43:2Waleka abantu ne batulinnyirira;
ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
1366:13 Mub 5:4Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
1566:15 Kbl 6:14; Zab 51:19Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
mpeeyo ente ennume n’embuzi.
1666:16 a Zab 34:11 b Zab 71:15, 24Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17Namukaabirira n’akamwa kange,
ne mutendereza n’olulimi lwange.
1866:18 Yob 36:21; Is 1:15; Yak 4:3Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
Mukama teyandimpulirizza;
1966:19 Zab 116:1-2ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
2066:20 Zab 22:24; 68:35Katonda atenderezebwenga,
atagobye kusaba kwange,
wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!