Zabbuli 64 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 64:1-10

Zabbuli 64

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

164:1 a Zab 55:2 b Zab 140:1Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;

okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.

264:2 Zab 56:6; 59:2Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,

onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana

364:3 Zab 58:7abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,

ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.

464:4 a Zab 11:2 b Zab 55:19Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;

amangwago ne bamulasa nga tebatya.

564:5 Zab 10:11Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi

ne bateesa okutega emitego mu kyama;

ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”

6Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,

“Tukoze enteekateeka empitirivu.”

Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.

7Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;

alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.

864:8 a Zab 9:3; Nge 18:7 b Zab 22:7Ebyo bye boogera biribaddira,

ne bibazikiriza,

ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.

964:9 Yer 51:10Olwo abantu bonna ne batya,

ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,

ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.

1064:10 a Zab 25:20 b Zab 32:11Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,

era yeekwekenga mu ye.

Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!