Zabbuli 63
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
163:1 Zab 42:2; 84:2Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
263:2 Zab 27:4Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
363:3 Zab 69:16Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
463:4 a Zab 104:33 b Zab 28:2Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
563:5 Zab 36:8Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
663:6 Zab 42:8Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
763:7 Zab 27:9Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
863:8 Zab 18:35Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
963:9 a Zab 40:14 b Zab 55:15Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
baliserengeta emagombe.
10Balisaanawo n’ekitala;
ne bafuuka emmere y’ebibe.
1163:11 Ma 6:13; Zab 21:1; Is 45:23Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.