Zabbuli 60
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
160:1 a 2Sa 5:20; Zab 44:9 b Zab 79:5 c Zab 80:3Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi,
otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
260:2 a Zab 18:7 b 2By 7:14Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa;
tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
360:3 a Zab 71:20 b Is 51:17; Yer 25:16Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
4Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu,
era akatiisa abalabe baabwe.
560:5 a Zab 17:7; 108:6 b Zab 127:2Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
660:6 Lub 12:6Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti,
“Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu,
era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
760:7 a Yos 13:31 b Ma 33:17 c Lub 49:10Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange;
ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
860:8 2Sa 8:1Mowaabu kye kinaabirwamu kyange,
ate Edomu gye nkasuka engatto yange:
ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”
9Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
1060:10 Yos 7:12; Zab 44:9; 108:11Si ggwe Ayi Katonda, atusudde,
atakyatabaala na magye gaffe?
1160:11 Zab 146:3Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe,
kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
1260:12 Kbl 24:18; Zab 44:5Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi,
kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.