Zabbuli 6
Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
16:1 Zab 38:1Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
so tombonereza mu kiruyi kyo.
26:2 a Kos 6:1 b Zab 22:14; 31:10Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
36:3 a Yk 12:27 b Zab 90:13Emmeeme yange ejjudde ennaku.
Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?
46:4 Zab 17:13Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
56:5 Zab 30:9; 88:10-12; Mub 9:10; Is 38:18Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?
66:6 a Zab 69:3 b Zab 42:3Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.
Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
n’omutto ne gutoba.
76:7 Zab 31:9Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.
86:8 a Zab 119:115 b Mat 7:23; Luk 13:27Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi;
kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.
96:9 Zab 116:1Mukama awulidde okwegayirira kwange,
n’okusaba kwange akukkirizza.
106:10 Zab 71:24; 73:19Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo;
bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.