Zabbuli 59
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.
159:1 Zab 143:9Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
259:2 Zab 139:19Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
era ondokole mu batemu.
359:3 Zab 56:6Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
459:4 Zab 35:19, 23Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
559:5 Yer 18:23Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
golokoka obonereze amawanga gonna;
abo bonna abasala enkwe tobasaasira.
659:6 nny 14Bakomawo buli kiro,
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
759:7 a Zab 57:4 b Zab 10:11Laba, bwe bavuma!
Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
859:8 a Zab 37:13; Nge 1:26 b Zab 2:4Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
era amawanga ago gonna oganyooma.
959:9 Zab 9:9; 62:2Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
1159:11 a Zab 84:9 b Ma 4:9 c Zab 106:27Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
1259:12 a Zab 10:7 b Nge 12:13 c Zef 3:11Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
1359:13 a Zab 104:35 b Zab 83:18Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.
14Bakomawo nga buwungedde
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
1559:15 Yob 15:23Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
ne bawowoggana bwe batakkuta.
1659:16 a Zab 21:13 b Zab 88:13 c Zab 101:1 d Zab 46:1Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
17Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.