Zabbuli 56 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 56:1-13

Zabbuli 56

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.

156:1 Zab 57:1-3Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;

buli lunaku bannumba n’amaanyi.

256:2 a Zab 57:3 b Zab 35:1Abalabe bange bannondoola,

bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.

356:3 Zab 55:4-5Buli lwe ntya,

neesiga ggwe.

456:4 Zab 118:6; Beb 13:6Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,

ye Katonda gwe neesiga; siityenga.

Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?

556:5 Zab 41:7Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;

ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.

656:6 a Zab 59:3 b Zab 71:10Beekobaana ne bateesa,

banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;

nga bannindirira banzite.

756:7 Zab 36:12; 55:23Tobakkiriza kudduka ne bawona;

mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.

856:8 Mal 3:16Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;

amaziga gange gateeke mu ccupa yo!

Wagawandiika.

956:9 a Zab 9:3 b Zab 102:2 c Bar 8:31Bwe nkukoowoola,

abalabe bange nga badduka.

Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.

10Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;

Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;

11Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.

Abantu bayinza kunkolako ki?

1256:12 Zab 50:14Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda;

ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.

1356:13 a Zab 116:8 b Yob 33:30Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.

Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;

ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda

mu musana nga ndi mulamu?