Zabbuli 53 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 53:1-6

Zabbuli 53

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

153:1 a Zab 14:1-7; Bar 3:10 b Zab 10:4Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,

“Tewali Katonda.”

Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;

tewali n’omu akola kirungi.

253:2 a Zab 33:13 b 2By 15:2Katonda atunuulira abaana b’abantu

ng’asinziira mu ggulu,

alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera

era abamunoonya.

353:3 Bar 3:10-12*Bonna bamukubye amabega

ne boonooneka;

tewali akola kirungi,

tewali n’omu.

4Aboonoonyi tebaliyiga?

Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;

so tebakoowoola Katonda.

553:5 a Lv 26:17 b Ez 6:5Balitya okutya okutagambika;

kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.

Baliswazibwa

kubanga Katonda yabanyooma.

6Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,

Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,

Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.