Zabbuli 51 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 51:1-19

Zabbuli 51

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.

151:1 a Bik 3:19 b Is 43:25; Bak 2:14Onsaasire, Ayi Mukama,

ggwe alina okwagala okutaggwaawo.

Olw’okusaasira kwo okungi

nziggyaako ebyonoono byange byonna.

251:2 a 1Yk 1:9 b Beb 9:14Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,

ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.

351:3 Is 59:12Ebyonoono byange mbikkiriza,

era ebibi byange mbimanyi bulijjo.

451:4 a Lub 20:6; Luk 15:21 b Bar 3:4*Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,

ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;

noolwekyo by’oyogera bituufu,

era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.

551:5 Yob 14:4Ddala, nazaalibwa mu kibi;

kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.

651:6 a Nge 2:6 b Zab 15:2Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.

Ompe amagezi munda ddala mu nze.

751:7 a Lv 14:4; Beb 9:19 b Is 1:18Onnaaze n’ezobu51:7 Ezobu kimera ekisangibwa mu Asiya, era kikozesebwa okutuukiriza obulombolombo obw’enjawulo okutukuzibwa, mu Baebbulaniya ntukule

onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.

851:8 Is 35:10Onzirize essanyu n’okwesiima,

amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.

951:9 Yer 16:17Totunuulira bibi byange,

era osangule ebyonoono byange byonna.

1051:10 a Zab 78:37; Bik 15:9 b Ez 18:31Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,

era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.

1151:11 Bef 4:30Tongoba w’oli,

era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.

1251:12 Zab 13:5Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,

era ompe omutima ogugondera by’oyagala,

1351:13 a Bik 9:21-22 b Zab 22:27ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,

n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.

1451:14 a 2Sa 12:9 b Zab 25:5 c Zab 35:28Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,

ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;

olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.

1551:15 Zab 9:14Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,

n’akamwa kange kanaakutenderezanga.

1651:16 1Sa 15:22; Zab 40:6Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;

n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.

1751:17 Zab 34:18Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.

Omutima ogumenyese era oguboneredde,

Ayi Katonda, toogugayenga.

1851:18 Zab 102:16; Is 51:3Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.

Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.

1951:19 a Zab 4:5 b Zab 66:13 c Zab 66:15Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,

ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;

n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.