Zabbuli 50
Zabbuli ya Asafu.
150:1 a Yos 22:22 b Zab 113:3Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
akoowoola ensi
okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
250:2 a Zab 48:2 b Ma 33:2; Zab 80:1Katonda ayakaayakana
ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
350:3 a Zab 96:13 b Zab 97:3; Dan 7:10Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
450:4 Ma 4:26; Is 1:2Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
azze okusalira abantu be omusango.
550:5 a Zab 30:4 b Kuv 24:7Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
650:6 a Zab 89:5 b Zab 75:7Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.
750:7 a Zab 81:8 b Kuv 20:2“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
Nze Katonda, Katonda wo.
850:8 Zab 40:6; Kos 6:6Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
950:9 Zab 69:31Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
1050:10 Zab 104:24Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
1250:12 Kuv 19:5Singa nnumwa enjala sandikubuulidde:
kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13Ndya ennyama y’ente ennume,
wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?
1450:14 a Beb 13:15 b Ma 23:21“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
1550:15 a Zab 81:7 b Zab 22:23Bw’obanga mu buzibu,
nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”
1650:16 Is 29:13Naye omubi Katonda amugamba nti,
“Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
n’endagaano yange togyogerangako.
1750:17 Nek 9:26; Bar 2:21-22Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa,
n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
1850:18 Bar 1:32; 1Ti 5:22Bw’olaba omubbi, ng’omukwana;
era weetaba n’abenzi.
1950:19 Zab 10:7; 52:2Okolima era olimba;
olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
2050:20 Mat 10:21Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera,
era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
2150:21 a Mub 8:11; Is 42:14 b Zab 90:8Ebyo byonna obikoze, ne nsirika,
n’olowooza nti twenkanankana.
Naye kaakano ka nkunenye,
ebisobyo byonna mbikulage.
2250:22 a Yob 8:13; Zab 9:17 b Zab 7:2“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo,
nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
2350:23 Zab 91:16Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza,
era ateekateeka ekkubo
ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”