Zabbuli 49
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
149:1 a Zab 78:1 b Zab 33:8Muwulire mmwe amawanga gonna,
mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
2Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
muwulirize ebigambo byange.
349:3 a Zab 37:30 b Zab 119:130Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
449:4 a Zab 78:2 b Kbl 12:8Nnaakozesanga ebikwata ku ngero,
nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.
549:5 Zab 23:4Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
649:6 Yob 31:24abantu abeesiga obugagga bwabwe
beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
7Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
wadde okwegula okuva eri Katonda.
849:8 Mat 16:26Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
tewali n’omu agusobola;
949:9 Zab 22:29; 89:48alyoke awangaale ennaku zonna
nga tatuuse magombe.
1049:10 a Mub 2:16 b Mub 2:18, 21Kubanga n’abantu abagezi bafa;
abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
1149:11 Lub 4:17; Ma 3:14Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
baafuna ettaka mu mannya gaabwe.
12Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
alifa ng’ensolo bwe zifa.
1349:13 Luk 12:20Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
1449:14 a Yob 24:19; Zab 9:17 b Dan 7:18; Mal 4:3; 1Ko 6:2; Kub 2:26Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
obulungi bwabwe ne bubula,
amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
1549:15 a Zab 56:13; Kos 13:14 b Zab 73:24Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
ddala ddala alintwala gy’ali.
16Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
tomutyanga,
1749:17 Zab 17:14; 1Ti 6:7kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
1849:18 Ma 29:19; Luk 12:19Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
1949:19 a Lub 15:15 b Yob 33:30kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
n’ayingira mu kizikiza ekikutte.
2049:20 Mub 3:19Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.