Zabbuli 48 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 48:1-14

Zabbuli 48

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

148:1 a Zab 96:4 b Zab 46:4 c Is 2:2-3; Mi 4:1; Zek 8:3Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo

mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

248:2 a Zab 50:2; Kgb 2:15 b Mat 5:35Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,

olusanyusa ensi yonna.

Ku ntikko Zafoni kwe kuli

ekibuga kya Kabaka Omukulu;

348:3 Zab 46:7Katonda mw’abeera;

yeeraze okuba ekigo kye.

448:4 2Sa 10:1-19Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana

ne bakyolekera bakirumbe;

548:5 Kuv 15:16bwe baakituukako ne bakyewuunya,

ne batya nnyo ne badduka;

6nga bakankana,

ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.

748:7 Yer 18:17; Ez 27:26Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba

bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.

848:8 Zab 87:5Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,

kaakano tubirabye

mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,

mu kibuga kya Katonda waffe,

kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

948:9 Zab 26:3Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo

nga tuli mu Yeekaalu yo.

1048:10 a Ma 28:58; Yos 7:9 b Is 41:10Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,

bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.

Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.

1148:11 Zab 97:8Sanyuka gwe Sayuuni,

musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;

kubanga Katonda alamula bya nsonga.

12Mutambule mu Sayuuni, mukibune;

mubale n’ebigo byakyo.

1348:13 a nny 3; Zab 122:7 b Zab 78:6Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo

n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;

mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.

1448:14 Zab 23:4Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;

y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.