Zabbuli 47 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 47:1-9

Zabbuli 47

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

147:1 a Zab 98:8; Is 55:12 b Zab 106:47Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;

muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;

247:2 a Ma 7:21 b Mal 1:14Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.

Ye Kabaka afuga ensi yonna.

347:3 Zab 18:39, 47Yatujeemululira abantu,

n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.

447:4 1Pe 1:4Yatulondera omugabo gwaffe,

Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.

547:5 Zab 68:33; 98:6Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.

Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.

647:6 Zab 68:4; 89:18Mutendereze Katonda, mumutendereze.

Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.47:6 Okutenderezebwa kwakolebwanga ne Siyofa, ejjembe eryafuuyibwanga okulangirira Omwaka Omuggya

747:7 a Zek 14:9 b Bak 3:16Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,

mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.

847:8 1By 16:31Katonda afuga amawanga gonna;

afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.

947:9 a Zab 72:11; 89:18 b Zab 97:9Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye

ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;

kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.

Katonda agulumizibwenga nnyo.