Zabbuli 46 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 46:1-11

Zabbuli 46

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

146:1 a Zab 9:9; 14:6 b Ma 4:7Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;

omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.

246:2 a Zab 23:4 b Zab 82:5 c Zab 18:7Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,

ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;

346:3 Zab 93:3amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu

ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

446:4 Zab 48:1, 8; Is 60:14Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,

kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.

546:5 a Is 12:6; Ez 43:7 b Zab 37:40Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.

Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.

646:6 a Zab 2:1 b Zab 68:32 c Mi 1:4Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;

ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

746:7 a 2By 13:12 b Zab 9:9Mukama ow’Eggye ali naffe,

Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

846:8 a Zab 66:5 b Is 61:4Mujje, mulabe Mukama by’akola,

mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.

946:9 a Is 2:4 b Zab 76:3 c Ez 39:9Y’akomya entalo mu nsi yonna;

akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;

amagaali n’engabo abyokya omuliro.

1046:10 a Zab 100:3 b Is 2:11Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.

Nnaagulumizibwanga mu mawanga.

Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11Katonda ow’Eggye ali naffe;

Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.