Zabbuli 44 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 44:1-26

Zabbuli 44

Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

144:1 Kuv 12:26; Zab 78:3Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,

bajjajjaffe baatubuulira,

ebyo bye wakola mu biro byabwe,

mu nnaku ez’edda ezaayita.

244:2 a Zab 78:55 b Kuv 15:17 c Zab 80:9Nga bwe wagoba amawanga mu nsi

n’ogiwa bajjajjaffe,

wasaanyaawo amawanga

n’okulaakulanya bajjajjaffe.

344:3 a Ma 8:17; Yos 24:12 b Zab 77:15 c Ma 4:37; 7:7-8Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,

n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;

wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo

awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.

444:4 Zab 74:12Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;

awa Yakobo obuwanguzi.

544:5 Zab 108:13Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;

ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.

644:6 Zab 33:16Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,

n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.

744:7 a Zab 136:24 b Zab 53:5Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,

n’oswaza abo abatuyigganya.

844:8 a Zab 34:2 b Zab 30:12Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.

Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.

944:9 a Zab 74:1 b Zab 60:1, 10Naye kaakano otusudde ne tuswala;

era tokyatabaala na magye gaffe.

1044:10 Lv 26:17; Yos 7:8; Zab 89:41Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,

abatuyigganya ne batunyaga.

1144:11 a Bar 8:36 b Ma 4:27; 28:64; Zab 106:27Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;

n’otusaasaanya mu mawanga.

1244:12 Is 52:3; Yer 15:13Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,

n’otobaako ky’oganyulwa.

1344:13 a Zab 79:4; 80:6 b Ma 28:37Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,

ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.

1444:14 Zab 109:25; Yer 24:9Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;

era abantu banyeenya emitwe gyabwe.

15Nswazibwa obudde okuziba,

amaaso gange ne gajjula ensonyi,

1644:16 Zab 74:10olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,

olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.

1744:17 Zab 78:7, 57; Dan 9:13Ebyo byonna bitutuseeko,

newaakubadde nga tetukwerabidde,

wadde obutagondera ndagaano yo.

1844:18 Yob 23:11Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,

so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.

1944:19 a Zab 51:8 b Yob 3:5Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,

n’otuleka mu kizikiza ekikutte.

2044:20 a Zab 78:11 b Ma 6:14; Zab 81:9Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,

ne tusinza katonda omulala,

2144:21 Zab 139:1-2; Yer 17:10ekyo Katonda waffe teyandikizudde?

Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.

2244:22 Is 53:7; Bar 8:36*Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,

era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.

2344:23 a Zab 7:6 b Zab 78:65 c Zab 77:7Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?

Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!

2444:24 a Yob 13:24 b Zab 42:9Lwaki otwekwese?

Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?

2544:25 Zab 119:25Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;

tuli ku ttaka.

2644:26 a Zab 35:2 b Zab 25:22Golokoka otuyambe;

tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.