Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 44

Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
    bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
    mu nnaku ez’edda ezaayita.
Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
    n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
    n’okulaakulanya bajjajjaffe.
Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
    n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
    awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.

Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
    awa Yakobo obuwanguzi.
Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
    ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
    n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
    n’oswaza abo abatuyigganya.
Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
    Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.

Naye kaakano otusudde ne tuswala;
    era tokyatabaala na magye gaffe.
10 Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
    abatuyigganya ne batunyaga.
11 Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
    n’otusaasaanya mu mawanga.
12 Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
    n’otobaako ky’oganyulwa.

13 Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
    ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
    era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15 Nswazibwa obudde okuziba,
    amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
    olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.

17 Ebyo byonna bitutuseeko,
    newaakubadde nga tetukwerabidde,
    wadde obutagondera ndagaano yo.
18 Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
    so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
    n’otuleka mu kizikiza ekikutte.

20 Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
    ne tusinza katonda omulala,
21 ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
    Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
    era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.

23 Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?
    Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!
24 Lwaki otwekwese?
    Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?

25 Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;
    tuli ku ttaka.
26 Golokoka otuyambe;
    tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

詩篇 44

祈求上帝保護

可拉後裔作的訓誨詩,交給樂長。

1上帝啊,
我們親耳聽過祖先講述你在古時,
在我們祖先時代的作為。
你親手趕出外族,
把我們的祖先安置在那裡;
你擊潰列邦,
使我們的祖先興旺發達。
他們不是靠自己的刀劍征服那裡,
不是靠自己的臂膀得勝,
而是靠你的權能、力量和恩惠,
因為你愛他們。
你是我的君王,我的上帝;
你讓雅各得勝。
我們靠你擊退敵人,
靠你的名踐踏仇敵。
我不倚靠我的弓,
我的劍不能使我得勝。
只有你使我們戰勝敵人,
使我們的仇敵蒙羞。
上帝啊,我們終日以你為榮,
我們永遠讚美你。(細拉)

現在你卻丟棄我們,
讓我們受辱,
不再幫我們的軍隊作戰。
10 你使我們在仇敵面前敗退,
遭敵人擄掠。
11 你使我們如被宰殺的羊,
將我們分散在列國。
12 你把我們廉價賣掉,
視我們一文不值。
13 你使我們遭四鄰辱罵,
被周圍人譏諷、嘲笑。
14 你使我們成為列國的笑柄,
人們對我們連連搖頭。
15 我終日受辱,滿面羞愧,
16 因為咒罵和譭謗我的人譏笑我,仇敵報復我。
17 雖然這一切臨到我們身上,
我們卻沒有忘記你,
也沒有違背你的約。
18 我們對你沒有異心,
也沒有偏離你的道路。
19 你在豺狼出沒的地方壓碎我們,
使死亡的陰影籠罩我們。
20 倘若我們忘記我們的上帝,
或舉手向外邦的神明禱告,
21 上帝怎會不知道呢?
祂洞悉人心中的秘密。
22 為了你,我們終日出生入死,
被視為待宰的羊。
23 主啊,求你醒來,
你為何沉睡?
求你起來,不要永遠丟棄我們。
24 你為何掩面不理我們,
不理會我們所受的苦難和壓迫?
25 我們仆倒在地,橫臥在塵土中。
26 求你起來幫助我們,
施慈愛救贖我們。