Zabbuli 41 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 41:1-13

Zabbuli 41

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

141:1 Zab 82:3-4; Nge 14:21Alina omukisa asaasira omunaku;

Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.

241:2 a Zab 37:22 b Zab 27:12Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,

era anaamuwanga omukisa mu nsi;

n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.

3Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;

n’amuwonya mu bulumi.

441:4 a Zab 6:2 b Zab 51:4Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”

541:5 Zab 38:12Abalabe bange boogeza obukyayi nti,

“Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”

641:6 a Zab 12:2 b Nge 26:24Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange;

naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa.

Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.

741:7 Zab 56:5; 71:10-11Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama;

nga banjogerako ebitali birungi.

8Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo,

emukubye wansi tayinza kuwona.”

941:9 a 2Sa 15:12; Zab 55:12 b Yob 19:19; Zab 55:20; Mat 26:23; Yk 13:18*Era ne mukwano gwange gwe neesiganga

bwe twalyanga,

anneefuukidde.

1041:10 Zab 3:3Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire,

onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.

1141:11 a Zab 147:11 b Zab 25:2Mmanyi ng’onsanyukira,

kubanga omulabe wange tampangudde.

1241:12 a Zab 37:17 b Yob 36:7Onnywezezza mu bwesimbu bwange,

ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.

1341:13 a Zab 72:18 b Zab 89:52; 106:48Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri,

oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.

Amiina era Amiina.