Zabbuli 40 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 40:1-17

Zabbuli 40

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

140:1 a Zab 27:14 b Zab 34:15Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,

n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,

240:2 a Zab 69:14 b Zab 27:5n’anziggya mu kinnya eky’entiisa,

n’annyinyulula mu bitosi,

n’anteeka ku lwazi olugumu

kwe nyimiridde.

340:3 Zab 33:3Anjigirizza oluyimba oluggya,

oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.

Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama

n’okumwesiganga.

440:4 a Zab 34:8 b Zab 84:12Balina omukisa

abo abeesiga Mukama,

abatagoberera ba malala

abasinza bakatonda ab’obulimba.

540:5 a Zab 136:4 b Zab 139:18; Is 55:8Ayi Mukama Katonda wange,

otukoledde eby’ewunyisa bingi.

Ebintu by’otuteekeddeteekedde

tewali ayinza kubikutegeeza.

Singa ngezaako okubittottola,

sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.

640:6 a 1Sa 15:22; Am 5:22 b Is 1:11Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.

Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,

tobyetaaga.

Naye onzigudde amatu.

7Kyenava njogera nti, “Nzuuno,

nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”

840:8 a Yk 4:34 b Zab 37:31Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,

kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.

940:9 a Zab 22:25 b Yos 22:22; Zab 119:13Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.

Sisirika busirisi,

nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.

1040:10 a Zab 89:1 b Bik 20:20Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,

naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.

Abantu nga bakuŋŋaanye,

sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.

1140:11 a Nge 20:28 b Zab 43:3Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,

amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.

1240:12 a Zab 116:3 b Zab 38:4 c Zab 69:4 d Zab 73:26Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;

ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;

bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,

mpweddemu amaanyi.

1340:13 Zab 70:1Onsasire ayi Mukama ondokole;

Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.

1440:14 Zab 35:4Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale;

n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.

15Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.

1640:16 Zab 35:27Naye abo abakunoonya basanyuke

era bajaguze;

abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,

Mukama agulumizibwenga.”

1740:17 Zab 70:5Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo.

Mukama ondowoozeeko.

Tolwawo, Ayi Katonda wange.

Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.