Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 38

Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

1Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,
    oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
Kubanga obusaale bwo bunfumise,
    n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
Obusungu bwo bundwazizza nzenna,
    n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
Omusango gwe nzizizza guyitiridde,
    gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.

Ebiwundu byange bitanye era biwunya,
    olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
Nkootakoota era mpweddemu ensa,
    ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
Omugongo gunnuma nnyo,
    ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;
    nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.

Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,
    n’okusinda kwange okuwulira.
10 Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;
    n’okulaba sikyalaba.
11 Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;
    ne bannange tebakyansemberera.
12 Abaagala okunzita bantega emitego,
    n’abo abangigganya bateesa okummalawo.
    Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.

13 Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;
    nga kiggala, atayogera.
14 Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,
    atasobola kwanukula.
15 Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,
    onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
16 Tobakkiriza kunneeyagalirako,
    oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.

17 Kubanga nsemberedde okugwa,
    era nga nnumwa buli kiseera.
18 Ddala ddala njatula ebyonoono byange;
    nnumirizibwa ekibi kyange.
19 Abalabe bange bangi era ba maanyi;
    n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
20 Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,
    era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.

21 Ayi Mukama, tonjabulira;
    tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.
22 Ayi Mukama Omulokozi wange,
    yanguwa okumbeera.

Japanese Living Bible

詩篇 38

1ああ主よ、お怒りのままに私を罰しないでください。
あなたの矢は深く突き刺さり、
私は容赦なく打たれて、圧倒されました。
3-4 御怒りにふれて病気となり、
罪のために健康を害したのです。
罪は洪水のように頭上を越えました。
もう、自分では負いきれない重荷です。
5-6 傷口はただれ、うみがあふれています。
罪の重さに、身をかがめて苦しみもだえています。
昼も夜も苦痛に満ち、
腰は焼けつくように痛く、
全身が病み疲れているのです。
私は精根尽き果て、絶望してうめくのみです。
主よ。
私がどれほど健康な体に戻りたいと思っているか、
あなたはご存じです。
私のため息は一つ残らずお耳に達したはずです。
10 動悸は激しく、体力は消耗し、
目も見えなくなりつつあります。
11 愛する者や友人たちは、
私の病気を怖がって近寄ってくれず、
家族の者さえ遠巻きにしています。
12 敵は、このいのちをつけねらい、
目覚めている間中、策略を練っているのです。
13-14 しかし私は、
彼らが脅す声を聞かないようにしています。
口がきけない人のように、黙りこんでいます。
15 主に望みを託しているからです。
ああ主よ、早く来て、私を守ってください。
16 それ見ろと言わんばかりに、失意の私を眺める
あの高慢な者どもにとどめを刺してください。
17 いつまで私は危険な崖っぷちに
立っていなければならないのでしょう。
悲しみの原因である罪が、
四六時中、私を見すえています。
18 私は罪を告白します。
どうか、今までの行いを赦してください。
19 しかし、敵は私を憎み、激しく苦しめます。
私には少しも身に覚えがありませんのに。
20 あの者どもは悪をもって善に報い、
正義を掲げる私を憎むのです。
21 ああ主よ、私を置き去りにしないでください。
22 私を救ってくださる主よ、
急いで来てお助けください。