Zabbuli 36
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
136:1 Bar 3:18*Nnina obubaka mu mutima gwange
obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
tatya Katonda.
2Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
oba okukyawa ekibi kye.
336:3 a Zab 10:7 b Zab 94:8 c Yer 4:22Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
takyalina magezi era takyakola birungi.
436:4 a Nge 4:16; Mi 2:1 b Is 65:2 c Zab 52:3; Bar 12:9Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu,
era ebitali bituufu tabyewala.
5Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
obwesigwa bwo butuuka ku bire.
636:6 Yob 11:8; Zab 77:19; Bar 11:33Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
736:7 Lus 2:12; Zab 17:8Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
baddukira mu biwaawaatiro byo.
836:8 a Zab 65:4 b Yob 20:17; Kub 22:1Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
936:9 a Yer 2:13 b 1Pe 2:9Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
era gw’otwakiza omusana.
10Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11Ab’amalala baleme okunninnyirira,
wadde ababi okunsindiikiriza.
1236:12 Zab 140:10Laba, ababi nga bwe bagudde!
Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.