Zabbuli 35 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 35:1-28

Zabbuli 35

Zabbuli ya Dawudi.

135:1 Zab 43:1Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya,

lwanyisa abo abannwanyisa.

235:2 Zab 62:2Golokoka okwate engabo,

n’akagabo onziruukirire.

3Galula effumu,

abangigganya obazibire ekkubo;

otegeeze omwoyo gwange nti,

“Nze bulokozi bwo.”

435:4 Zab 70:2Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe

era baswazibwe;

abo abateesa okunsanyaawo

bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.

535:5 Yob 21:18; Zab 1:4; Is 29:5Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo,

malayika wa Mukama ng’abagoba.

6Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.

7Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze,

ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,

835:8 a 1Bs 5:3 b Zab 9:15bazikirizibwe nga tebategedde,

n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,

era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.

935:9 a Luk 1:47 b Is 61:10Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama,

ne gusanyukira mu bulokozi bwe.

1035:10 a Kuv 15:11 b Zab 18:17 c Zab 37:14Amagumba gange galyogera nti,

“Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama?

Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi,

n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”

1135:11 Zab 27:12Abajulizi abakambwe bagolokoka

ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.

1235:12 Yk 10:32Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,

ne banakuwaza omwoyo gwange.

1335:13 Yob 30:25; Zab 69:10So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,

ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,

naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,

14ne mbeera mu nnaku

ng’ankungubagira ow’omukwano

oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike

ng’akaabira nnyina.

1535:15 Yob 30:1, 8Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;

ne bannumba nga simanyi,

ne bampayiriza obutata.

1635:16 Yob 16:9; Kgb 2:16Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,

ne bannumira obujiji.

1735:17 a Kbk 1:13 b Zab 22:20Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?

Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,

obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.

1835:18 a Zab 22:25 b Zab 22:22Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,

ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.

1935:19 a Zab 38:19; 69:4; Yk 15:25* b Zab 13:4; Nge 6:13Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,

abankyawa awatali nsonga;

abankyayira obwereere

tobakkiriza kunziimuula.

20Teboogera bya mirembe,

wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.

2135:21 a Zab 22:13 b Zab 40:15Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,

“Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”

2235:22 a Kuv 3:7 b Zab 10:1; 28:1Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.

Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.

2335:23 Zab 44:23Golokoka ojje onnyambe;

nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.

24Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,

tobaganya kunneeyagalirako.

2535:25 Kgb 2:16Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”

Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”

2635:26 a Zab 40:14; 109:29 b Zab 38:16Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,

batabulwetabulwe era baswazibwe;

abo bonna abanneegulumirizaako

baswazibwe era banyoomebwe.

2735:27 a Zab 9:4 b Zab 32:11 c Zab 40:16; 147:11Abo abasanyuka ng’annejjeereza,

baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;

era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,

asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”

2835:28 Zab 51:14Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,

era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.