Zabbuli 34 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 34:1-22

Zabbuli 34

Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.

134:1 Zab 71:6; Bef 5:20Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,

akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.

234:2 a Yer 9:24; 1Ko 1:31 b Zab 119:74Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;

ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.

334:3 Luk 1:46Kale tutendereze Mukama,

ffenna tugulumizenga erinnya lye.

434:4 Mat 7:7Nanoonya Mukama, n’annyanukula;

n’ammalamu okutya kwonna.

534:5 a Zab 36:9 b Zab 25:3Abamwesiga banajjulanga essanyu,

era tebaaswalenga.

6Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,

n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.

734:7 2Bk 6:17; Dan 6:22Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,

n’abawonya.

834:8 a 1Pe 2:3 b Zab 2:12Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!

Balina omukisa abaddukira gy’ali.

934:9 Zab 23:1Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,

kubanga abamutya tebaajulenga.

1034:10 Zab 84:11Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;

naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.

1134:11 Zab 32:8Mujje wano baana bange, mumpulirize;

mbayigirize okutya Mukama.

1234:12 1Pe 3:10Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,

okuba mu ssanyu emyaka emingi?

1334:13 1Pe 2:22Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,

n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.

1434:14 a Zab 37:27 b Beb 12:14Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;

noonya emirembe era ogigobererenga.

1534:15 a Zab 33:18 b Yob 36:7Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,

n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.

1634:16 a Lv 17:10; Yer 44:11 b 1Pe 3:10-12* c Nge 10:7Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,

okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.

1734:17 Zab 145:19Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira

n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.

1834:18 a Zab 145:18 b Is 57:15Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

1934:19 a nny 17 b nny 4, 6; Nge 24:16Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi,

naye byonna Mukama abimuyisaamu.

2034:20 Yk 19:36*Amagumba ge gonna Mukama agakuuma,

ne watabaawo na limu limenyeka.

2134:21 Zab 94:23Ekibi kiritta abakola ebibi,

n’abalabe b’abatuukirivu balibonerezebwa.

2234:22 1Bk 1:29; Zab 71:23Mukama anunula abaweereza be;

so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa.