Zabbuli 31
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
leka nneme kuswazibwa.
Ndokola mu butuukirivu bwo.
231:2 Zab 18:2Ontegere okutu kwo
oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
331:3 a Zab 18:2 b Zab 23:3Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
431:4 Zab 25:15Omponye mu mutego gwe banteze;
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
531:5 Luk 23:46; Bik 7:59Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;
ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.
631:6 Yon 2:8Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;
nze nneesiga Mukama.
731:7 a Zab 90:14 b Zab 10:14; Yk 10:27Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,
kubanga olabye okubonaabona kwange
era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
831:8 Ma 32:30Tompaddeeyo mu balabe bange,
naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.
931:9 Zab 6:7Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
amaaso gange gakooye olw’ennaku;
omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
1031:10 a Zab 13:2 b Zab 38:3; 39:11Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
n’amagumba ganafuye.
1131:11 Yob 19:13; Zab 38:11; 64:8; Is 53:4Abalabe bange bonna bansekerera,
banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
n’abandaba mu kkubo banziruka.
1231:12 Zab 88:4Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
1331:13 a Yer 20:3, 10; Kgb 2:22 b Mat 27:1Buli ludda mpulirayo obwama
nga bangeya;
bye banteesaako
nga basala olukwe okunzita.
1431:14 Zab 140:6Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;
nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
1531:15 Yob 24:1; Zab 143:9Entuuko zange ziri mu mikono gyo;
ondokole mu mikono gy’abalabe bange
n’abangigganya.
1631:16 Kbl 6:25; Zab 4:6Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
1731:17 a Zab 25:2-3 b Zab 115:17Ayi Mukama tondeka kuswazibwa,
kubanga nkukoowoola;
leka abo ababi baswale,
era bagalamire emagombe nga basirise.
1831:18 a Zab 120:2 b Zab 94:4Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba
kasirisibwe,
kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,
nga babyogeza amalala n’okunyooma.
1931:19 a Bar 11:22 b Is 64:4Obulungi bwo,
bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,
n’obuwa mu lwatu
abo abaddukira gy’oli.
2031:20 a Zab 27:5 b Yob 5:21Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,
n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,
n’ennyombo z’abantu
ne zitabatuukako.
2131:21 a Zab 17:7 b 1Sa 23:7Mukama atenderezebwenga
kubanga yandaga okwagala kwe okungi,
bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.
2231:22 a Zab 116:11 b Kgb 3:54Bwe natya ennyo
ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.”
Kyokka wampulira nga nkukaabirira
n’onsaasira.
2331:23 a Zab 34:9 b Zab 145:20 c Zab 94:2Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna!
Mukama akuuma abo abamwesiga,
naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.
2431:24 Zab 27:14Muddeemu amaanyi mugume omwoyo
mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.