Zabbuli 30 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 30:1-12

Zabbuli 30

Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.

130:1 Zab 25:2; 28:9Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,

kubanga wannyimusa;

n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.

230:2 a Zab 88:13 b Zab 6:2Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,

n’omponya.

330:3 Zab 28:1; 86:13Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,

n’omponya ekinnya.

430:4 a Zab 149:1 b Zab 97:12Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;

mutendereze erinnya lye ettukuvu.

530:5 a Zab 103:9 b 2Ko 4:17Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,

naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.

Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka

essanyu ne lijja nga bukedde.

6Bwe namala okunywera

ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”

730:7 Ma 31:17; Zab 104:29Ayi Mukama, bwe wanjagala,

wanyweza olusozi lwange;

naye bwe wankweka amaaso go

ne neeraliikirira.

8Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;

ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.

930:9 Zab 6:5“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya

ne nzikirira?

Enfuufu eneekutenderezanga

n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?

10Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;

Ayi Mukama, onnyambe.”

1130:11 Zab 4:7; Yer 31:4, 13Ofudde okwaziirana kwange amazina;

onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.

1230:12 a Zab 16:9 b Zab 44:8Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga.

Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.