Zabbuli 3 – LCB & CST

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 3:1-8

Zabbuli 3

Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.

1Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!

Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!

23:2 Zab 71:11Bangi abanjogerako nti,

“Katonda tagenda kumununula.”

33:3 a Lub 15:1; Zab 28:7 b Zab 27:6Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;

ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.

43:4 Zab 2:6Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,

n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

53:5 Lv 26:6; Nge 3:24Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,

kubanga Mukama ye ampanirira.

63:6 Zab 27:3Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange

abanneetoolodde, okunnumba.

73:7 a Zab 7:6 b Zab 6:4 c Yob 16:10 d Zab 58:6Golokoka, Ayi Mukama,

ondokole Ayi Katonda wange

okube abalabe bange bonna

omenye oluba lw’abakola ebibi.

83:8 Is 43:3, 11Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.

Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Nueva Versión Internacional (Castilian)

Salmo 3:1-8

Salmo 3

Salmo de David, cuando huía de su hijo Absalón.

1Muchos son, Señor, mis enemigos;

muchos son los que se oponen a mí,

2y muchos los que de mí aseguran:

«Dios no lo salvará». Selah

3Pero tú, Señor, me rodeas cual escudo;

tú eres mi gloria;

¡tú mantienes en alto mi cabeza!

4Clamo al Señor a gritos,

y desde su monte santo él me responde. Selah

5Yo me acuesto, me duermo y vuelvo a despertar,

porque el Señor me sostiene.

6No me asustan los numerosos pueblos

que me acosan por doquier.

7¡Levántate, Señor!

¡Ponme a salvo, Dios mío!

¡Rómpeles la quijada a mis enemigos!

¡Rómpeles los dientes a los malvados!

8Tuya es, Señor, la salvación;

¡envía tu bendición sobre tu pueblo! Selah