Zabbuli 27 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 27:1-14

Zabbuli 27

Zabbuli ya Dawudi.

127:1 a Is 60:19 b Kuv 15:2 c Zab 118:6Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;

ani gwe nnaatyanga?

Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;

ani asobola okuntiisa?

227:2 Zab 9:3; 14:4Abalabe bange n’abantu ababi bonna

bwe banannumba nga baagala okunzita,

baneesittala

ne bagwa.

327:3 a Zab 3:6 b Yob 4:6Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,

omutima gwange teguutyenga;

olutalo ne bwe lunansitukirangako,

nnaabanga mugumu.

427:4 a Zab 90:17 b Zab 23:6; 26:8Ekintu kimu kye nsaba Mukama,

era ekyo kye nnoonya:

okubeeranga mu nnyumba ya Mukama

ennaku zonna ez’obulamu bwange,

ne ndabanga obulungi bwa Mukama,

era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.

527:5 a Zab 17:8; 31:20 b Zab 40:2Kubanga mu biseera eby’obuzibu

anansuzanga mu nju ye;

anankwekanga mu weema ye,

n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.

627:6 a Zab 3:3 b Zab 107:22Olwo ononnyimusanga

waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.

Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;

nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.

727:7 Zab 13:3Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;

onkwatirwe ekisa onnyanukule!

8Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”

Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”

927:9 Zab 69:17Tonneekweka,

so tonyiigira muweereza wo,

kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.

Tonneggyaako, so tonsuula,

Ayi Katonda, Omulokozi wange.

10Kitange ne mmange bwe balindeka,

Mukama anandabiriranga.

1127:11 Zab 5:8; 25:4; 86:11Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,

era onkulembere mu kkubo lyo,

kubanga abalabe bange banneetoolodde.

1227:12 Mat 26:60; Bik 9:1Tompaayo mu balabe bange,

kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,

okunkambuwalira.

1327:13 a Zab 31:19 b Yer 11:19; Ez 26:20Nkyakakasiza ddala

nga ndiraba obulungi bwa Mukama

mu nsi ey’abalamu.

1427:14 Zab 40:1Lindirira Mukama.

Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.

Weewaawo, lindirira Mukama.