Zabbuli 26 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 26:1-12

Zabbuli 26

Zabbuli ya Dawudi.

126:1 a Zab 7:8; Nge 20:7 b Zab 28:7 c 2Bk 20:3; Beb 10:23Onnejjeereze, Ayi Mukama,

kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;

nneesiga ggwe, Ayi Mukama,

nga sibuusabuusa.

226:2 a Zab 17:3 b Zab 7:9Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;

weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.

326:3 2Bk 20:3Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,

era mu mazima go mwe ntambulira.

426:4 Zab 1:1Situula na bantu balimba,

so siteesaganya na bakuusa.

526:5 Zab 31:6; 139:21Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;

so situula na bakozi ba bibi.

626:6 Zab 73:13Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;26:6 Okunaaba mu ngalo mu lujjudde, kaali kabonero akalaga ng’omuntu oyo bw’atalina musango

ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;

726:7 Zab 9:1ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,

olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

826:8 Zab 27:4Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,

kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.

926:9 Zab 28:3Tombalira mu boonoonyi,

wadde mu batemu,

1026:10 1Sa 8:3abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,

era abali b’enguzi.

1126:11 Zab 69:18Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;

nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

1226:12 a Zab 27:11; 40:2 b Zab 22:22Nnyimiridde watereevu.

Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.