Zabbuli 24
Zabbuli ya Dawudi.
124:1 a Kuv 9:29; Yob 41:11; Zab 89:11 b 1Ko 10:26*Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.
324:3 a Zab 2:6 b Zab 15:1; 65:4Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
424:4 a Yob 17:9 b Mat 5:8Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
atasinza bakatonda abalala,
era atalayirira bwereere.
5Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
624:6 Zab 27:8Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.
724:7 a Is 26:2 b Zab 97:6; 1Ko 2:8Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
824:8 Zab 76:3-6Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
9Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.