Zabbuli 22 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 22:1-31

Zabbuli 22

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

122:1 a Mat 27:46*; Mak 15:34* b Zab 10:1Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?

Lwaki ogaana okunnyamba

wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?

222:2 Zab 42:3Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;

n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.

322:3 a Zab 99:9 b Ma 10:21Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,

era ettendo lya Isirayiri yonna.

4Bajjajjaffe baakwesiganga;

baakwesiga naawe n’obawonya.

522:5 Is 49:23Baakukoowoolanga n’obalokola;

era baakwesiganga ne batajulirira.

622:6 a Yob 25:6; Is 41:14 b Zab 31:11 c Is 49:7; 53:3Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;

abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.

722:7 a Mat 27:39, 44 b Mak 15:29Bonna abandaba banduulira,

era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,

822:8 a Zab 91:14 b Mat 27:43“Yeesiga Mukama;

kale amuwonye.

Obanga Mukama amwagala,

kale nno amulokole!”

922:9 Zab 71:6Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,

era wampa okukwesiga

ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.

1022:10 Is 46:3Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;

olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.

1122:11 Zab 72:12Tobeera wala nange,

kubanga emitawaana ginsemberedde,

ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.

1222:12 a Zab 68:30 b Ma 32:14Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,

zisseddume enkambwe ez’e Basani22:12 Basani kyali kifo ekyali ku luuyi olw’obukiikakkono obw’ebuvanjuba, era kyali kimanyiddwa olw’ente zisseddume ez’amaanyi ate nga nsava. zinzingizizza.

1322:13 a Zab 17:12 b Zab 35:21Banjasamiza akamwa kaabwe

ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.

1422:14 a Zab 31:10 b Yob 30:16; Dan 5:6Ngiyiddwa ng’amazzi,

n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.

Omutima gwange guli ng’obubaane,

era gusaanuukidde mu mubiri gwange.

1522:15 a Zab 38:10; Yk 19:28 b Zab 104:29Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;

n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.

Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.

1622:16 a Zab 59:6 b Is 53:5; Zek 12:10; Yk 19:34Abantu ababi banneetoolodde;

banneebunguludde ng’embwa ennyingi;

banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.

1722:17 a Luk 23:35 b Luk 23:27Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.

Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.

1822:18 Mat 27:35*; Luk 23:34; Yk 19:24*Bagabana engoye zange;

era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.

1922:19 Zab 70:5Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.

Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!

2022:20 Zab 35:17Omponye okuttibwa n’ekitala;

obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!

21Nzigya mu kamwa k’empologoma,

omponye amayembe g’embogo enkambwe.

2222:22 Beb 2:12*Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;

nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.

2322:23 a Zab 86:12; 135:19 b Zab 33:8Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.

Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;

era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.

2422:24 a Zab 69:17 b Beb 5:7Kubanga tanyooma kwaziirana

kw’abo abali mu nnaku,

era tabeekweka,

wabula abaanukula bwe bamukoowoola.

2522:25 a Zab 35:18 b Mub 5:4Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.

Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.

2622:26 a Zab 107:9 b Zab 40:16Abaavu banaalyanga ne bakkuta,

abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.

Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.

2722:27 a Zab 2:8 b Zab 86:9Ensi zonna zirijjukira

ne zikyukira Mukama,

ebika byonna eby’amawanga gonna

birimuvuunamira.

2822:28 Zab 47:7-8Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama,

era y’afuga amawanga gonna.

2922:29 a Zab 45:12 b Is 26:19Abagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza.

Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira,

abatakyali balamu.

3022:30 Zab 102:28Ezadde lyabwe lirimuweereza;

abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.

3122:31 Zab 78:6N’abo abatannazaalibwa

balibuulirwa obutuukirivu bwe nti,

“Ekyo yakikoze.”