Zabbuli 20 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 20:1-9

Zabbuli 20

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

120:1 a Zab 46:7, 11 b Zab 91:14Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.

Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.

220:2 Zab 3:4Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;

akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.

320:3 a Bik 10:4 b Zab 51:19Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,

era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.

420:4 Zab 21:2; 145:16, 19Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,

era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.

520:5 a Zab 9:14; 60:4 b 1Sa 1:17Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,

ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.

Mukama akuwenga byonna by’omusaba.

620:6 Zab 28:8; 41:11; Is 58:9Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,

amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,

ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.

720:7 a Zab 33:17; Is 31:1 b 2By 32:8Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,

naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.

820:8 a Mi 7:8 b Zab 37:23Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,

naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.

920:9 Zab 3:7; 17:6Ayi Mukama, lokola kabaka,

otwanukule bwe tukukoowoola.