Zabbuli 2
12:1 Zab 21:11Lwaki amawanga geegugunga
n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
22:2 a Zab 48:4 b Zab 74:18, 23; Yk 1:41; Bik 4:25-26*Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
32:3 Yer 5:5“Ka tukutule enjegere zaabwe,
era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”
42:4 Zab 37:13; 59:8; Nge 1:26Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
52:5 Zab 21:9; 78:49-50N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
6N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”
72:7 Bik 13:33*; Beb 1:5*Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:
kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
olwa leero nfuuse kitaawo.
82:8 Zab 22:27Nsaba,
nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
92:9 a Kub 12:5 b Zab 89:23 c Kub 2:27*Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”
10Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
112:11 a Beb 12:28 b Zab 119:119-120Muweereze Mukama nga mumutya,
era musanyuke n’okukankana.
122:12 a Yk 5:23 b Kub 6:16 c Zab 34:8; Bar 9:33Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.