Zabbuli 19 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 19:1-14

Zabbuli 19

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

119:1 a Is 40:22 b Zab 50:6; Bar 1:19Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,

ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.

219:2 Zab 74:16Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,

era liraga amagezi ge buli kiro.

3Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,

era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.

419:4 a Bar 10:18* b Zab 104:2Naye obubaka bwabyo

bubunye mu nsi yonna.

Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.

5Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,

era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.

619:6 Zab 113:3; Mub 1:5Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,

ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,

era tewali kyekweka bbugumu lyayo.

719:7 a Zab 23:3 b Zab 93:5; 111:7 c Zab 119:98-100Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,

era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.

Etteeka lya Mukama lyesigika,

ligeziwaza abatalina magezi.

819:8 Zab 12:6; 119:128Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,

kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.

Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,

bye galaba.

919:9 Zab 119:138, 142Okutya Mukama kirungi,

era kya mirembe gyonna.

Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,

era bya butuukirivu ddala.

1019:10 Nge 8:10Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,

okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.

Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,

okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.

11Ebyo bye birabula omuddu wo,

era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.

1219:12 Zab 51:2; 90:8; 139:6Ani asobola okulaba ebyonoono bye?

Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.

13Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,

bireme kunfuga.

Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa

nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.

1419:14 a Zab 104:34 b Zab 18:2 c Is 47:4Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,

bisiimibwe mu maaso go,

Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.