Zabbuli 18
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.
1Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.
218:2 a Zab 19:14 b Zab 59:11 c Zab 75:10Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
318:3 Zab 48:1Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
era amponya eri abalabe bange.
418:4 a Zab 116:3 b Zab 124:4Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
518:5 Zab 116:3Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
618:6 Zab 34:15Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
ne nkaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
718:7 a Bal 5:4 b Zab 68:7-8Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
kubanga yali asunguwadde.
818:8 Zab 50:3Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.
Omuliro ne guva mu kamwa ke,
ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
918:9 Zab 144:5Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
1018:10 a Zab 80:1 b Zab 104:3Yeebagala kerubi n’abuuka,18:10 Bakerubi batonde ba Katonda era babeera mu kitiibwa kye. Be balabirira Entebe ey’Obwakabaka ey’Obwakatonda.
n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
1118:11 Ma 4:11; Zab 97:2Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga
okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
1218:12 a Zab 104:2 b Zab 97:3Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,
n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
1318:13 Zab 29:3; 104:7Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
1418:14 Zab 144:6Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;
n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
1518:15 Zab 76:6; 106:9Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula
olw’okunenya kwo Ayi Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.
1618:16 Zab 144:7Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,
n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
1718:17 Zab 35:10Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,
abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
1818:18 Zab 59:16Bannumba nga ndi mu buzibu,
naye Mukama n’annyamba.
1918:19 a Zab 31:8 b Zab 118:5N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,
kubanga yansanyukira nnyo.
2018:20 Zab 24:4Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
2118:21 a 2By 34:33 b Zab 119:102Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
ne sikola kibi eri Katonda wange.
2218:22 Zab 119:30Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
era ne siva ku biragiro bye.
23Sisobyanga mu maaso ge
era nneekuuma obutayonoona.
2418:24 1Sa 26:23Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.
2518:25 1Bk 8:32; Zab 62:12; Mat 5:7Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
2618:26 Nge 3:34Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
2718:27 Nge 6:17Owonya abawombeefu,
naye abeegulumiza obakkakkanya.
2818:28 Yob 18:6; 29:3Okoleezezza ettaala yange;
Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
2918:29 Beb 11:34Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.
3018:30 a Ma 32:4; Kub 15:3 b Zab 12:6 c Zab 17:7Katonda byonna by’akola bigolokofu;
Mukama ky’asuubiza akituukiriza;
era bwe buddukiro
bw’abo bonna abamwekwekamu.
3118:31 a Ma 32:39; Zab 86:8; Is 45:5, 6, 14, 18, 21 b Ma 32:31; 1Sa 2:2Kale, ani Katonda, wabula Mukama?
Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
3218:32 Is 45:5Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
3318:33 a Kbk 3:19 b Ma 32:13Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,
n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
3418:34 Zab 144:1Anjigiriza okulwana entalo,
ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.
3518:35 Zab 119:116Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange;
era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;
weetoowazizza n’ongulumiza.
36Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,
obukongovvule bwange ne butanuuka.
3718:37 Zab 37:20; 44:5Nagoba abalabe bange embiro,
ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
3818:38 a Zab 36:12 b Zab 47:3Nababetenta ne batasobola na kugolokoka,
ne mbalinnyako ebigere byange.
39Ompadde amaanyi ag’okulwana;
abalabe bange ne banvuunamira.
4018:40 a Zab 21:12 b Zab 94:23Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka,
ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
4118:41 a Zab 50:22 b Yob 27:9; Nge 1:28Baalaajana naye tewaali yabawonya;
ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.
42Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula;
ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.
4318:43 a 2Sa 8:1-14 b Is 52:15; 55:5Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu;
n’onfuula omufuzi w’amawanga.
Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
4418:44 Zab 66:3Olumpulira ne baŋŋondera,
bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
4518:45 Mi 7:17Bannamawanga baggwaamu omutima
ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
4618:46 Zab 51:14Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;
era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
4718:47 Zab 47:3Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi
era akakkanya amawanga ne ngafuga.
Amponyeza abalabe bange.
4818:48 Zab 59:1Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange,
n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
4918:49 a Zab 108:1 b Bar 15:9*Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga,
era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
5018:50 a Zab 144:10 b Zab 89:4Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi,
amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi n’eri ezzadde lye.