Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 17

Okusaba kwa Dawudi.

1Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira,
    wuliriza okukaaba kwange.
Tega okutu owulirize okukoowoola kwange,
    kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
Nzigyako omusango;
    kubanga olaba ekituufu.

Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
    Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
    kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
Ggwe, gwe nkoowoola,
    ngoberedde ebigambo by’akamwa ko,
ne neewala
    ebikolwa by’abantu abakambwe.
Nnyweredde mu makubo go,
    era ebigere byange tebiigalekenga.

Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula;
    ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa,
    ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo
    abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
Omponye ababi abannumba,
    n’abalabe bange abanneetoolodde.

10 Omutima gwabwe mukakanyavu,
    n’akamwa kaabwe koogera by’amalala.
11 Banzingizza era banneetoolodde;
    bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
12 Bali ng’empologoma enjala gy’eruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo
    era ng’empologoma enkulu eteeze.

13 Golokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama,
    oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
14 Ayi Mukama, mponya abantu,
    abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi.

Embuto zaabwe zigezze,
    obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe
    ne bazzukulu baabwe.
15 Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu
    era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.

Japanese Living Bible

詩篇 17

1ああ主よ、お願いです。どうかお助けください。
私はまっすぐに生き、正しいことをしてきました。
ですから、どうしても、
この切なる叫びを聞いていただきたいのです。
主よ、人々の前で私の嫌疑を晴らしてください。
神はいつも公平なお方です。
神は私を調べて、
正しいことを確認してくださいました。
神は夜中に来られましたが、
不正は何一つ見いださず、
私が真実を語ってきたことを認められました。
私はご指示に従い、
残忍な悪者とは行動を共にしませんでした。
私の足は、神の道から
一歩もすべり落ちることがありませんでした。

なぜ、私はこのように祈っているのでしょう。
お答えが頂けると信じているからです。
ああ神よ、どうかこの祈りを聞いてください。
ああ、敵から助け出されたいと願う者すべてにとって
救い主である方よ。
その大いなる愛を、目をみはるほどに見せてください。
私をご自身のひとみを守るように守り、
御翼の陰にかくまってください。

敵は殺意を抱いて私を取り囲んでいます。
10 情け知らずで、横柄な者たちです。
自慢げに語る彼らの声を聞いてください。
11 彼らは私を追いつめ、
今にも地面に投げつけようとしています。
12 ライオンのように私を引き裂こうと目を光らせ、
若いライオンのようにチャンスをうかがって
待ち伏せしています。

13-14 主よ、立ち上がり、戦ってください。
彼らを追い返してください。
早く来てくださり、地上の利得しか考えていない
この世の人々から私を救ってください。
神は彼らの家をご自身の宝で満たされたので、
彼らの子も孫も裕福になりました。
15 しかし、私の関心は富にはなく、
私が神を見ているかどうか、
また、神と正しい関係にあるかどうかにあります。
私は天で目覚めるとき、
この上ない満足感にひたるでしょう。
神の御顔をじかに見るからです。