Zabbuli 16 – LCB & LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 16:1-11

Zabbuli 16

Ya Dawudi.

116:1 a Zab 17:8 b Zab 7:1Onkuume, Ayi Katonda,

kubanga ggwe buddukiro bwange.

216:2 Zab 73:25Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange,

ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.”

316:3 Zab 101:6Abatukuvu abali mu nsi be njagala

era mu bo mwe nsanyukira.

416:4 a Zab 106:37-38 b Zab 32:10 c Kuv 23:13Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala

yeeyongera.

Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi,16:4 Ssaddaaka ez’omusaayi zaaweebwangayo mu kusinza balubaale, era yali mpisa y’abo abaasinzanga balubaale. Empisa eyo, omuwandiisi wa Zabbuli gyavumirira

wadde okusinza bakatonda baabwe.

516:5 a Zab 73:26 b Zab 23:5Mukama, ggwe mugabo gwange,

era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange.

616:6 Zab 78:55; Yer 3:19Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa,

ddala ddala omugabo omulungi.

716:7 a Zab 73:24 b Zab 77:6Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya

ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.

816:8 Zab 73:23Nkulembeza Mukama buli kiseera,

era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,

siinyeenyezebwenga.

916:9 a Zab 4:7; 30:11 b Zab 4:8Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza;

era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.

1016:10 Bik 13:35*Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe,

wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.

1116:11 a Mat 7:14 b Bik 2:25-28* c Zab 36:7-8Olindaga ekkubo ery’obulamu;

w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,

era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.