Zabbuli 148 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 148:1-14

Zabbuli 148

1Mutendereze Mukama!

Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,

mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.

2148:2 Zab 103:20Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,

mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.

3Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,

nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.

4148:4 Lub 1:7; 1Bk 8:27Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,

naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

5148:5 Lub 1:1, 6; Zab 33:6, 9Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!

Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.

6148:6 Yob 38:33; Zab 89:37; Yer 33:25Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,

n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

7148:7 Zab 74:13-14Mumutendereze nga musinziira ku nsi,

mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,

8148:8 Zab 147:15-18mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,

naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,

9148:9 Is 44:23; 49:13; 55:12mmwe agasozi n’obusozi,

emiti egy’ebibala n’emivule;

10ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,

ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,

11bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,

abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,

12abavubuka abalenzi n’abawala;

abantu abakulu n’abaana abato.

13148:13 a Is 12:4 b Zab 8:1; 113:4Bitendereze erinnya lya Mukama,

kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;

ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.

14148:14 Zab 75:10Abantu be abawadde amaanyi,

era agulumizizza abatukuvu be,

be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

Mutendereze Mukama.