Zabbuli 147 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 147:1-20

Zabbuli 147

1147:1 a Zab 135:3 b Zab 33:1Mutendereze Mukama!

Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;

kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.

2147:2 a Zab 102:16 b Ma 30:3Mukama azimba Yerusaalemi;

era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.

3Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,

era ajjanjaba ebiwundu byabwe.

4147:4 Is 40:26Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;

era buli emu n’agituuma erinnya.

5147:5 a Zab 48:1 b Is 40:28Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,

n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.

6147:6 Zab 146:8-9Mukama awanirira abawombeefu,

naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.

7147:7 Zab 33:3Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;

mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

8147:8 a Yob 38:26 b Zab 104:14Mukama abikka eggulu n’ebire,

ensi agitonnyeseza enkuba,

n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.

9147:9 a Zab 104:27-28; Mat 6:26 b Yob 38:41Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.

10147:10 a 1Sa 16:7 b Zab 33:16-17Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,

wadde mu magulu g’omuntu,

11wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,

era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

12Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,

tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,

13kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,

n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.

14147:14 a Is 60:17-18 b Zab 132:15Aleeta emirembe ku nsalo zo;

n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.

15147:15 Yob 37:12Aweereza ekiragiro kye ku nsi;

ekigambo kye ne kibuna mangu.

16147:16 a Yob 37:6 b Yob 38:29Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,

n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.

17Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;

bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?

18147:18 Zab 33:9Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;

n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.

19147:19 Ma 33:4; Mal 4:4Yategeeza Yakobo ekigambo kye;

Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.

20147:20 Ma 4:7-8, 32-34Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;

amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.

Mutendereze Mukama!