Zabbuli 146 – LCB & CARST

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 146:1-10

Zabbuli 146

1146:1 Zab 103:1Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

2146:2 Zab 104:33Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;

nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.

3146:3 a Zab 118:9 b Is 2:22Teweesiganga bafuzi,

wadde abantu obuntu omutali buyambi.

4146:4 a Zab 104:29; Mub 12:7 b Zab 33:10; 1Ko 2:6Kubanga bafa ne bakka emagombe;

ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.

5146:5 a Zab 144:15; Yer 17:7 b Zab 71:5Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;

ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,

6146:6 a Zab 115:15; Bik 14:15; Kub 14:7 b Zab 117:2eyakola eggulu n’ensi

n’ennyanja ne byonna ebirimu,

era omwesigwa emirembe gyonna.

7146:7 a Zab 103:6 b Zab 107:9 c Zab 68:6Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,

n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.

Mukama asumulula abasibe.

8146:8 Mat 9:30Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,

era awanirira abazitoowereddwa.

Mukama ayagala abatuukirivu.

9146:9 Kuv 22:22; Ma 10:18; Zab 68:5Mukama alabirira bannamawanga,

era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;

naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10146:10 Kuv 15:18; Zab 10:16Mukama anaafuganga emirembe gyonna,

Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Забур 146:1-11

Песнь 146Песнь 146 В тексте оригинала песни 146 и 147 объединены в одну песнь.

1Славьте Вечного!

Как хорошо петь хвалу нашему Богу!

Как сладостна подобающая хвала!

2Вечный отстраивает Иерусалим,

собирает изгнанников Исроила.

3Он исцеляет разбитые сердца

и врачует раны.

4Он исчисляет количество звёзд

и называет их по именам.

5Велик наш Владыка и могуществен;

Его разум не знает границ.

6Вечный возвышает кроткого,

нечестивого же низвергает на землю.

7Воспойте Вечному с благодарностью,

сыграйте нашему Богу на арфе.

8Он небо покрывает тучами,

готовит дождь для земли

и растит траву на горах.

9Он даёт пищу животным

и кричащим птенцам ворона.

10Не силе лошади Он радуется

и не к быстроте человеческих ног благоволит,

11но благоволит Вечный к боящимся Его,

к уповающим на Его милость.