Zabbuli 145 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 145:1-21

Zabbuli 145

Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.

1145:1 a Zab 30:1; 34:1 b Zab 5:2Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;

era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.

2145:2 Zab 71:6Nnaakutenderezanga buli lunaku;

era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.

3145:3 Yob 5:9; Zab 147:5; Bar 11:33Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,

n’obukulu bwe tebwogerekeka.

4145:4 Is 38:19Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,

era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.

5145:5 Zab 119:27Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,

era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

6145:6 a Zab 66:3 b Ma 32:3Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,

nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.

7145:7 a Is 63:7 b Zab 51:14Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;

era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.

8145:8 a Zab 86:15 b Kuv 34:6; Kbl 14:18Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,

alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.

9145:9 Zab 100:5Mukama mulungi eri buli muntu,

era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.

10145:10 a Zab 19:1 b Zab 68:26Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;

n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.

11Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,

era banaatendanga amaanyi go.

12145:12 Zab 105:1Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,

n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.

13145:13 1Ti 1:17; 2Pe 1:11Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,

n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.

Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,

n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.

14145:14 a Zab 37:24 b Zab 146:8Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,

era ayimusa bonna abagwa.

15145:15 Zab 104:27; 136:25Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,

era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.

16145:16 Zab 104:28Oyanjuluza engalo zo,

ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.

17Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna

era ayagala byonna bye yatonda.

18145:18 a Ma 4:7 b Yk 4:24Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;

abo bonna abamukoowoola mu mazima.

19145:19 a Zab 37:4 b Nge 15:29Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,

era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.

20145:20 a Zab 31:23; 97:10 b Zab 9:5Mukama akuuma bonna abamwagala,

naye abakola ebibi alibazikiriza.

21145:21 a Zab 71:8 b Zab 65:2Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,

era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu

emirembe n’emirembe.