Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Zabbuli 145

Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.

1Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
    era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
Nnaakutenderezanga buli lunaku;
    era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.

Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
    n’obukulu bwe tebwogerekeka.
Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
    era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
    era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
    nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
    era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.

Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
    alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.

Mukama mulungi eri buli muntu,
    era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
    n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
    era banaatendanga amaanyi go.
12 Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
    n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
    n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.

Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
    n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
    era ayimusa bonna abagwa.
15 Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
    era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 Oyanjuluza engalo zo,
    ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.

17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
    era ayagala byonna bye yatonda.
18 Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
    abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
    era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 Mukama akuuma bonna abamwagala,
    naye abakola ebibi alibazikiriza.

21 Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
    era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
    emirembe n’emirembe.

Священное Писание (Восточный Перевод)

Забур 145

1Славьте Вечного!

Восхваляй, душа моя, Вечного!
    Всю свою жизнь буду восхвалять Вечного;
    буду петь хвалу моему Богу, пока я жив.

Не надейтесь на правителей,
    они всего лишь люди и не могут вас спасти.
Когда дух покидает их, и они возвращаются в землю,
    в тот самый день исчезают и все их помышления.

Благословен тот, кому помощник Бог Якуба,
    кто надеется на Вечного, своего Бога,
сотворившего небо и землю,
    море и всё, что его наполняет, –
    на Вечного, Который хранит Свою верность вовеки.
Он защищает дело угнетённых,
    даёт пищу голодным.
Вечный освобождает заключённых,
    Вечный открывает глаза слепым,
Вечный поднимает всех низверженных,
    Вечный любит праведных.
Вечный хранит чужеземцев,
    поддерживает сирот и вдов,
    а путь нечестивых искривляет.

10 Вечный будет царствовать вовеки,
    Твой Бог, Сион, – во все поколения.

Славьте Вечного!