Zabbuli 144 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 144:1-15

Zabbuli 144

Zabbuli ya Dawudi.

1144:1 Zab 18:2, 34Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,

atendeka emikono gyange okulwana,

era ateekerateekera engalo zange olutalo.

2144:2 a Zab 59:9; 91:2 b Zab 84:9Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,

ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.

Ye ngabo yange mwe neekweka.

Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.

3144:3 Zab 8:4; Beb 2:6Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,

oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?

4144:4 Zab 39:11; 102:11Omuntu ali nga mukka.

Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.

5144:5 a Zab 18:9; Is 64:1 b Zab 104:32Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!

Kwata ku nsozi zinyooke omukka!

6144:6 Zab 7:12-13; 18:14Myansa abalabe basaasaane,

era lasa obusaale bwo obazikirize.

7144:7 a Zab 69:2 b Zab 18:44Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,

omponye,

onzigye mu mazzi amangi,

era onzigye mu mikono gya bannamawanga;

8144:8 Zab 12:2ab’emimwa egyogera eby’obulimba,

abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.

9144:9 Zab 33:2-3Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;

nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,

10144:10 Zab 18:50ggwe awa bakabaka obuwanguzi;

amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.

11144:11 Zab 12:2; Is 44:20Ndokola, omponye onzigye

mu mukono gwa bannamawanga bano

ab’emimwa egyogera eby’obulimba,

era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.

12144:12 Zab 128:3Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,

babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,

ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda

okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.

13Amawanika gaffe gajjule ebibala

ebya buli ngeri.

Endiga zaffe zizaale

enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.

14Ente zaffe ziwalule ebizito.

Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.

Waleme kubaawo kukaaba

n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.

15144:15 Zab 33:12Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!

Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.