Zabbuli 143
Zabbuli Ya Dawudi.
1143:1 a Zab 140:6 b Zab 89:1-2 c Zab 71:2Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2143:2 Zab 14:3; Mub 7:20; Bar 3:20Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4143:4 Zab 142:3Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5143:5 Zab 77:6Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6143:6 Zab 63:1; 88:9Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7143:7 a Zab 69:17 b Zab 27:9; 28:1Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8143:8 a Zab 46:5; 90:14 b Zab 27:11 c Zab 25:1-2Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9143:9 Zab 31:15Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10143:10 Nek 9:20; Zab 23:3; 25:4-5Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
11143:11 a Zab 119:25 b Zab 31:1Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12143:12 a Zab 52:5; 54:5 b Zab 116:16Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
ozikirize n’abanjigganya bonna,
kubanga nze ndi muddu wo.