Zabbuli 142 – LCB & NVI

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 142:1-7

Zabbuli 142

Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.

1142:1 Zab 30:8Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;

neegayirira Mukama ansaasire.

2142:2 Is 26:16Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,

ne mmwanjulira ebinteganya byonna.

3142:3 Zab 140:5; 143:4, 7Omwoyo gwange bwe gunnennyika,

gw’omanyi eky’okunkolera.

Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.

4142:4 Zab 31:11; Yer 30:17Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;

sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.

5142:5 a Zab 46:1 b Zab 16:5 c Zab 27:13Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,

nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,

ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”

6142:6 a Zab 17:1 b Zab 79:8; 116:6Owulire okukaaba kwange,

kubanga njeezebwa nnyo!

Mponya abanjigganya,

kubanga bansinza nnyo amaanyi.

7142:7 a Zab 146:7 b Zab 13:6Nziggya mu kkomera,

ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.

Abatuukirivu balinneetooloola,

ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.

Nueva Versión Internacional

Salmo 142:1-7

Salmo 142Sal 142 En el texto hebreo 142:1-7 se numera 142:2-8.

Masquil de David. Cuando estaba en la cueva. Oración.

1A voz en cuello, al Señor pido ayuda;

a voz en cuello, al Señor pido compasión.

2Ante él expongo mi queja;

ante él expreso mi angustia.

3Cuando ya no me queda aliento,

tú me muestras el camino.

Por la senda que transito

algunos me han tendido una trampa.

4Mira a mi derecha y ve:

nadie me tiende la mano.

No tengo dónde refugiarme;

por mí nadie se preocupa.

5A ti, Señor, te pido ayuda;

a ti te digo: «Tú eres mi refugio,

mi porción en la tierra de los vivientes».

6Atiende a mi clamor,

porque me siento muy débil;

líbrame de mis perseguidores,

porque son más fuertes que yo.

7Sácame de la prisión,

para que alabe yo tu nombre.

Los justos se reunirán en torno mío

por la bondad que me has mostrado.