Zabbuli 141 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 141:1-10

Zabbuli 141

Zabbuli Ya Dawudi.

1141:1 a Zab 22:19; 70:5 b Zab 143:1Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!

Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.

2141:2 a Kub 5:8; 8:3 b 1Ti 2:8 c Kuv 29:39, 41Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,

n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.

3Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,

era bwe njogera onkomeko.

4141:4 Nge 23:6Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,

n’okwemalira mu bikolwa ebibi;

nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,

wadde okulya ku mmere yaabwe.

5141:5 a Nge 9:8 b Zab 23:5Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;

muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;

sijja kugagaana.

Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.

6Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,

olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.

7141:7 Zab 53:5Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,

n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”

8141:8 a Zab 25:15 b Zab 2:12Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;

mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!

9141:9 a Zab 140:4 b Zab 38:12Nkuuma omponye omutego gwe banteze,

n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.

10141:10 Zab 35:8Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.