Zabbuli 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 14:1-7

Zabbuli 14

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

114:1 Zab 10:4Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,

“Tewali Katonda.”

Aboogera bwe batyo boonoonefu,

bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.

214:2 a Zab 33:13 b Zab 92:6Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi

ng’asinziira mu ggulu,

okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,

era abanoonya Katonda.

314:3 a Zab 58:3 b Zab 143:2 c Bar 3:10-12*Naye bonna bakyamye

boonoonese;

teri akola kirungi,

era teri n’omu.

414:4 a Zab 82:5 b Zab 27:2 c Zab 79:6; Is 64:7Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?

Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;

so tebakoowoola Mukama.

5Balitya nnyo!

Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.

614:6 Zab 9:9; 40:17Mulemesa entegeka z’omwavu,

songa Mukama kye kiddukiro kye.

714:7 Zab 53:6Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!

Mukama bw’alirokola abantu be,

Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.