Zabbuli 139
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1139:1 a Zab 17:3 b Yer 12:3Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2139:2 a 2Bk 19:27 b Mat 9:4; Yk 2:24Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3139:3 Yob 31:4Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
4139:4 Beb 4:13Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5139:5 Zab 34:7Ondi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
6139:6 Yob 42:3; Bar 11:33Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
7139:7 Yer 23:24; Yon 1:3Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
8139:8 a Am 9:2-3 b Nge 15:11Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
9Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10139:10 Zab 23:3era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12139:12 Yob 34:22; Dan 2:22Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
ekiro kyakaayakana ng’emisana;
kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
13139:13 a Zab 119:73 b Yob 10:11Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14139:14 Zab 40:5Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15139:15 a Yob 10:11 b Zab 63:9Wammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17139:17 Zab 40:5By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.
19139:19 a Is 11:4 b Zab 119:115Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
abasajja abassi b’abantu banveeko.
20139:20 Yud 15Abantu abo bakwogerako bibi;
bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21139:21 2By 19:2; Zab 31:6; 119:113; 119:158Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22Mbakyayira ddala nnyo,
era mbayita balabe bange.
23139:23 a Yob 31:6; Zab 26:2 b Yer 11:20Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
24139:24 Zab 5:8; 143:10; Nge 15:9Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu;
era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.