Zabbuli 136 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 136:1-26

Zabbuli 136

1136:1 a Zab 106:1 b 1By 16:34; 2By 20:21Mwebaze Mukama kubanga mulungi,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

2136:2 Ma 10:17Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

3Mwebaze Mukama w’abafuzi,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

4136:4 Zab 72:18Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

5136:5 a Nge 3:19; Yer 51:15 b Lub 1:1Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

6136:6 a Lub 1:9; Yer 10:12 b Zab 24:2Oyo eyabamba ensi ku mazzi,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

7136:7 Lub 1:14, 16Oyo eyakola ebyaka ebinene,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

8136:8 Lub 1:16Enjuba yagikola okufuganga emisana,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

9Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

10136:10 Kuv 12:29; Zab 135:8Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

11136:11 Kuv 6:6; 12:51N’aggya Isirayiri mu Misiri,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

12136:12 Ma 4:34; Zab 44:3Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

13136:13 Kuv 14:21; Zab 78:13Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

14136:14 Kuv 14:22N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

15136:15 Kuv 14:27; Zab 135:9Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

16136:16 Kuv 13:18Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

17136:17 Zab 135:9-12Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

18136:18 Ma 29:7N’atta bakabaka ab’amaanyi,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

19136:19 Kbl 21:21-25Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

20Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

21136:21 Yos 12:1N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

22Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

23136:23 Zab 113:7Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

24136:24 Zab 107:2N’atuwonya abalabe baffe,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

25136:25 Zab 104:27; 145:15Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

26Kale mwebaze Katonda w’eggulu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Забур 136:1-9

Песнь 136

1У рек Вавилона мы сидели и плакали,

когда вспоминали Сион.

2Там на вербах

мы повесили наши арфы.

3Там пленившие нас требовали от нас песен,

притеснители наши требовали от нас веселья,

говоря: «Спойте нам одну из песен Сиона».

4Как нам петь песнь Вечного

в чужой земле?

5Если я забуду тебя, Иерусалим,

то пусть отнимется моя правая рука.

6Пусть прилипнет язык мой к нёбу,

если не буду помнить тебя,

если не будет Иерусалим

моей самой большой радостью.

7Не забывай, Вечный, что делали эдомитяне

в день захвата вавилонянами Иерусалима,

как они говорили: «Разрушайте,

разрушайте его до основания!»

8Дочь Вавилона136:8 Дочь Вавилона – олицетворение Вавилона., обречённая на разорение!

Благословен тот, кто воздаст тебе

за то, что ты сделала с нами.

9Благословен тот, кто возьмёт и разобьёт

твоих младенцев о камень.