Zabbuli 134
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1134:1 a Zab 135:1-2 b 1By 9:33Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,
abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
2134:2 Zab 28:2; 1Ti 2:8Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,
mutendereze Mukama.
3134:3 a Zab 128:5 b Zab 124:8Mukama eyakola eggulu n’ensi
akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.