Zabbuli 133
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
1133:1 Lub 13:8; Beb 13:1Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
2133:2 Kuv 30:25Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
3133:3 a Ma 4:48 b Lv 25:21; Ma 28:8 c Zab 42:8Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
n’obulamu emirembe gyonna.