Zabbuli 132 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 132:1-18

Zabbuli 132

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1Ayi Mukama jjukira Dawudi

n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.

2132:2 Lub 49:24Nga bwe yalayirira Mukama,

ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,

3ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,

wadde okulinnya ku kitanda kyange.

4Sirikkiriza tulo kunkwata

newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,

5132:5 Bik 7:46okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;

ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”

6132:6 a 1Sa 17:12 b 1Sa 7:2Laba, twakiwulirako mu Efulasa,

ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.

7132:7 a Zab 5:7 b Zab 99:5Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,

tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.

8132:8 Kbl 10:35; Zab 78:61Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;

ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.

9132:9 Yob 29:14; Is 61:3, 10Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,

n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.

10Ku lulwe Dawudi omuddu wo,

tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.

11132:11 a Zab 89:3-4, 35 b 2Sa 7:12Mukama Katonda yalayirira Dawudi

ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.

Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo

gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.

12132:12 Luk 1:32; Bik 2:30Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange

n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,

ne batabani baabwe nabo banaatuulanga

ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”

13132:13 Zab 48:1-2Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,

nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:

14132:14 Zab 68:16“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;

omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.

15132:15 Zab 107:9; 147:14Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,

era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.

16132:16 2By 6:41Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;

n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.

17132:17 a Ez 29:21; Luk 1:69 b 1Bk 11:36; 2By 21:7“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;

ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.

18132:18 Zab 35:26; 109:29Abalabe be ndibajjuza ensonyi,

naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”